Isaiah 13:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ensi ndigibonereza olw'ebibi byayo, n'ababi olw'ebyonoono byabwe; ndikomya olunkulu lw'abeekuza, ndikakkanya amampaati g'abakambwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ndibonereza ensi olw’okwonoona kw’ayo, n’abakozi b’ebibi olw’ebyonoono byabwe. Era ndimalawo okweyisa kw’ab’amalala era nzikakkanya okwenyumiriza kw’abo abakambwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwayo, n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Ndituusa akabi ku nsi, era ndibonereza abantu olw'ebibi byabwe. Ndikomya olwetumbu lw'abeegulumiza, era nditoowaza buli eyeekulumbaza n'atiisatiisa abalala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndibonereza ensi olw'obubi bwabwe n'ababi olw'obutali butuukirivu bwabwe; era ndimalawo ekyejo eky'abalina amalala, era ndikkakkanya okwenyumiriza kw'abo abatiisa.