Isaiah 13:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ennangaazi gye bayigga, oba endiga etaliiko musumba, balidda buli omu mu bantu be, balidda buli omu mu nsi ye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Era ng’empeewo eyiggibwa, ng’endiga eteriiko agirunda, buli muntu aliddukira eri abantu be buli muntu aliddukira mu nsi y’ewaabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa oba ng'endiga ezitaliiko musumba, buli muntu aliddukira eri abantu be, era buli muntu aliddukira mu nsi ye waabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ekiseera ekyo bwe kirituuka, abagwira balidduka, nga bali ng'empeewo egobebwa abayizzi, era nga basaasaanye ng'endiga ezitaliiko musumba, buli omu okudda mu bantu be mu nsi y'ewaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ng'empeewo egobebwa era ng'endiga ezitaliiko musumba, balikyuka buli muntu okudda mu bantu b'ewaabwe ye, era balidduka buli muntu mu nsi yaabwe ye.