Isaiah 13:17 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Laba, nzija kubasiikuulira Abamedi, abatafa ku ffeeza, yadde okusanyukira zaabu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, ndibayimbulira Abameedi, abatafa ku ffeeza era abateeguya zaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu nga tebasikiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama agamba nti: “Laba ndibawendulira Abameedi abatafa ku ffeeza, era abatasikirizibwa zaabu, ne babalumba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, ndibaleetako Abameedi, abatalissaayo mwoyo eri effeeza, n'ezaabu tebaligisanyukira.