Isaiah 13:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musitule bendera ku ntikko y'olusozi enjereere, muleekaanire gye bali, mubawenyeko; bayingire mu miryango gy'abakungu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muwanike bbendera ku lusozi olutaliiko bantu, mubakaabirire mubawenye bayingire mu miryango gy’abakungu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muwanike ebendera ku lusozi olw'erere, mubayimusize eddoboozi, mubawenye bayingire mu miryango egy'abakungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Muwanike bbendera y'olutalo ku lusozi olutaliiko muddo. Mukoowoole abaserikale, mubawenye n'omukono, bayingire mu miryango gy'ekibuga ekirimu abakungu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwanike ebendera ku lusozi olw'obweru, mubayimusize eddoboozi, muwenye n'omukono, bayingire mu miryango egy'abakungu.