Isaiah 13:21 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wabula bisolo bya mu ddungu bye birigalamira eyo; ennyumba zaamu zirijjula ebiwuugulu; maaya ze zirisulangamu, n'emisambwa gye giryebuukizanga omwo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ensolo enkambwe ez’omu ddungu ze zinaagalamirangayo; ennyumba zijjule ebintu ebiwoowoola; bammaaya banaabeeranga eyo, n’ebikulekule bibuukire eyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebikulekule binaaziniranga eyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaabeerangayo, n'ennyumba zaabwe zirijjulamu ebintu ebisindogoma. Ne bimmaaya binaabeeranga eyo, n'emisambwa ginaaziniranga eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ensolo enkambwe ez'omu ddungu ze zinaagalamirangayo; n'ennyumba zaabwe zirijjula ebintu ebisinda; ne bamaaya banaabeerangayo, n'ebya zigeye binaaziniranga eyo.