Isaiah 13:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empisi ziriwoowooleranga mu bigo byamu, n'emisege mu mbiri zaamu ezisanyusa; obudde bwakyo busemberedde ddala; ennaku zaakyo tezijja kuwanvuyirizibwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’empisi zinaakaabiranga mu bigulumu by’ebigo byabwe, ebibe bikaabire mu mbiri zaabwe ezitemagana. Ekiseera kyakyo kinaatera okutuuka, ennaku ze teziryongerwako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mbiri zaabwe; n'ekiseera kyakyo kiri kumpi okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisege gye ginaakaabiranga mu minaala gyabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ekinyumu. Ekiseera kya Babilooni eky'enkomerero kiri kumpi kutuuka, n'ennaku zaakyo zinaatera okuggwaako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'emisege ginaakaabiranga mu bigo byabwe, n'ebibe mu mayumba gaabwe ag'ebinyumu: n'ekiseera kyakyo kiri kumpi n'okutuuka, so n'ennaku zaakyo teziryongerwako.