Isaiah 13:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bava mu nsi ey'ewala, eri ku nkingi z'eggulu, Omukama n'ebyokulwanyisa by'obusungu bwe, bazikirize ensi yonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bava wala mu nsi ezeewala ennya okuva ku nkomerero y’eggulu. Mu busungu bwe Mukama Katonda aleese ebyokulwanyisa eby’okuzikiriza ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama mu busungu aleese eby'okulwanyisa, okuzikiriza ensi yonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'ensi. Mukama ng'ali wamu n'abo b'akozesa bw'asunguwala, ajja okuzikiriza ensi yonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bava mu nsi y'ewala, ku nkomerero y'eggulu, Mukama n'ebyokulwanyisa eby'okunyiiga kwe, okuzikiriza ensi yonna.