Isaiah 13:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lw'Omukama lutuuse; lujja kujja ng'okwaya okuva ew'Omuyinza wa buli kantu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukungubage, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, lulijja ng’okuzikirira okuva eri Mukama Katonda bwe kuba!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi; lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukube ebiwoobe, kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi, olunaku Omuyinzawaabyonna lw'alireeterako okuzikirira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muwowoggane; kubanga olunaku lwa Mukama luli kumpi lulijja ng'okuzikirira okuva eri Omuyinza w'ebintu byonna.