Isaiah 13:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balitekemuka; obuyinike n'obulumi biribakwata; balyenyoola ng'omukazi mu kulumwa; buli omu alitunuulira munne ng'awuniikiridde; ng'amaaso gabaaka omuliro.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era bakeŋŋentererwe n’okubalagala kulibakwata, balyoke balumwe ng’omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako nga bawuniikiridde amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era balikeŋŋentererwa; okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: balitunulaganako nga bawuniikiridde; amaaso gaabwe nga gatangaalirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna balitya, era balijjula obulumi, ng'omukazi alumwa okuzaala. Balitunulaganako mu kutya, amaaso gaabwe ne gajjula ensonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era balikeŋŋentererwa okusonsomolwa n'okubalagalwa kulibakwata; balirumwa ng'omukazi alumwa okuzaala: baliwuniikirira bokka na bokka; amaaso gaabwe galiba maaso ga muliro.