Isaiah 13:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lw'Omukama luulwo lujja; olw'obukambwe, obukaali n'obusungu obwesera; ensi lwa kugifuula matongo, aboonoonyi abalimu bazikirizibwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba olunaku lwa Mukama lujja, olunaku olubi ennyo olw’ekiruyi n’obusungu obubuubuuka okufuula ensi amatongo, n’okuzikiriza abakozi b’ebibi okubamalamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, olunaku lwa Mukama lujja, olubi ennyo, olw'ekiruyi n'obusungu; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olunaku lwa Mukama luulwo lujja, olunaku olukambwe, luliraga obusungu bwe n'ekiruyi kye, okusaanyaawo ensi, okuzikiriza n'okugimaliramu ddala abalina ebibi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba olunaku lwa Mukama lujja, olukambwe, nga lulina obusungu n'ekiruyi; okuzisa ensi, n'okuzikiriza abalina ebibi abaayo okubamalamu.