Isaiah 14:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama aliddiramu Yakobo, n'addamu okulonda Yisirayeli; alibatebenkeza ku ttaka lyabwe. Ab'amawanga balibeegattako ne beeyunga ku nnyumba ya Yakobo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda alikwatirwa Yakobo ekisa, addemu alonde Isirayiri abazze ku ttaka lyabwe. Ne bannamawanga balibeegattako era babeere wamu nga babeeyungiddeko ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama alisaasira Yakobo, era, aliddamu okulonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo. Bannamawanga balibeegattako babeerere ddala ba mu nnyumba ya Yakobo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama aliddamu okukwatirwa ekisa aba Yakobo, addemu okulonda Abayisirayeli babe bantu be, era alibazzaayo mu nsi yaabwe, mwe baba babeera. N'abagwira balijja ne babeeranga wamu ne bazzukulu ba Yakobo abo, ne babeekwatirako ddala.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama alisaasira Yakobo, era, bw'alimala, n'alonda Isiraeri, n'abateeka mu nsi yaabwe bo: n'omugenyi alyegatta nabo, era balyetaba n'ennyumba ya Yakobo.