Isaiah 14:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bonna balyanukula, ne bakugamba nti: ‘Naawe onafuye nga ffe; ofuuse nga ffe!’
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna balyogera ne bakugamba nti, “Naawe oweddemu amaanyi nga ffe! Naawe ofuuse nga ffe!”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe! Ofaanana nga ffe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bonna abo balisaakaanya ne bakugamba nti: ‘Leero naawe ofuuse munafu nga ffe? Ofaananira ddala nga ffe?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abo bonna baliddamu ne bakugamba nti Era naawe ofuuse munafu nga ffe? ofaanaanyizibwa nga ffe?