Isaiah 14:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wawanuka otya mu ggulu, ggwe emmunyeenye y'oku makya, mutabani wa mmambya? Otemeddwa otya n'ogwa ku ttaka, ggwe eyafufuggazanga amawanga?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ogudde okuva mu ggulu, ggwe emunyeenye ey’enkya, omwana w’emambya! Ng’otemeddwa n’ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeenye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa n'ogwa ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ggwe emmunyeenye y'oku makya, ayaka ennyo n'omyansa, owanuse ku ggulu n'ogwa! Ggwe eyafufuggazanga amawanga, oli ku ttaka omeggeddwa!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ng'ogudde okuva mu ggulu, ggwe emmunyeeye ey'enkya, omwana w'enkya! ng'otemeddwa okutuuka ku ttaka, ggwe eyamegganga amawanga!