Isaiah 14:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu mutima gwo eyagambanga nti: ‘Nzija kulinnya mu ggulu, nnamulondo yange ngisukkulumye waggulu w'emmunyeenye za Katonda; ŋŋenda kutuula ku nnamulondo, ku lusozi olukuŋŋaanirwako, ewala eyo emambuka;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wayogera mu mutima gwo nti, “Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emunyeenye za Katonda; era nditeeka entebe yange waggulu ntuule ku lusozi olw’okukuŋŋaanirako ku njuyi ez’enkomerero ez’obukiikakkono;
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wayogera mu mutima gwo nti, ‘Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeenye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiikakkono;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mu mutima gwo walowoozanga ng'olirinnya mu ggulu, osse entebe yo waggulu w'emmunyeenye za Katonda, era ng'olituula ku lusozi balubaale lwe bakuŋŋaanirako, ewala eyo mu bukiikakkono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'oyogera mu mutima gwo nti Ndirinnya mu ggulu, ndigulumiza entebe yange okusinga emmunyeeye za Katonda; era ndituula ku lusozi olw'ekibiina, ku njuyi ez'enkomerero ez'obukiika obwa kkono: