Isaiah 14:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabula ggwe okasukiddwa ebweru w'entaana yo, ng'ettabi eryenyinyalwa, ovungiddwavungiddwa wamu n'abattibwa, abaasoggwa ekitala, ne bakkirira mu mayinja g'obunnya; ng'omulambo ogulinnyiriddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naye osuulibbwa okukuggya mu malaalo go ng’ettabi ery’omuzizo eryakyayibwa, ng’oteekeddwa wamu n’abattibwa, abaafumitibwa n’ekitala, abakka eri amayinja g’obunnya; ng’omulambo ogulinyiriddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyiriddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ggwe toliiko malaalo, osuuliddwa kuvundira bweru. Obikkiddwa mirambo gy'abo abattiddwa mu lutalo, ng'osuuliddwa wamu nabo mu kinnya ky'amayinja, n'oba omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ggwe osuulibwa okukuggya mu malaalo go ng'ettabi erikyayibwa, ng'oyambadde abattibwa, abafumitibwa n'ekitala, abakka mu mayinja ag'obunnya; ng'omulambo ogulinnyirirwa n'ebigere.