Isaiah 14:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga galibaddira ne gabatuusa mu kifo kyabwe; ennyumba ya Yisirayeli eribafuula baayo mu nsi y'Omukama ng'abaddu n'abazaana. Baliwamba abaali babawambye, ne bafuga abaali babanyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
N’amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n’ennyumba ya Isirayiri ebeere n’abantu abamawanga amangi mu nsi ya Mukama Katonda, nga baweereza baabwe abasajja n’abakazi. Baliwamba abaali babawambye, bafuge abo abaabakijjanyanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'amawanga mangi galibayamba okudda mu nsi yaabwe, n'ennyumba ya Isiraeri baliba nabo mu nsi ya Mukama okuba abaddu n'abazaana, era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga mangi galiyamba Abayisirayeli okuddayo mu nsi yaabwe, Mukama gye yabawa, era ab'amawanga amalala baliba abaddu n'abazaana okubaweerezanga. Abayisirayeli baliwamba abo abaabawambanga, era banaafuganga abo abaabajoonyesanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amawanga balibatwala, ne babaleeta mu kifo kyabwe: n'ennyumba ya Isiraeri baba nabo mu nsi ya Mukama okuba baddu n'abazaana: era baliwamba abo abaabawambanga; era balifuga abo abaabajooganga.