Isaiah 14:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Ndibasitukiramu,” Omukama w'Amagye bw'agamba, “ne nsangulawo mu Babiloni erinnya lye n'erinnya ly'abaliba basigaddewo, ery'abaana n'abazzukulu,” Omukama bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Nange ndibagolokokerako,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye, “ne mmalawo mu Babulooni erinnya lye, n’abalifikkawo, n’omwana n’omuzzukulu,” bw’ayogera Mukama Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
“Nange ndibagolokokerako,” bw'ayogera Mukama ow'eggye, “ Ne mmalawo mu Babbulooni erinnya lye, n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye agamba nti: “Ndirumba Babilooni ne nkizikiriza, kibuleko erinnya n'abawonyeewo, kibuleko omwana n'omuzzukulu. Nze Mukama, bwe ntyo bwe ŋŋambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange ndibagolokokerako, bw'ayogera Mukama ow'eggye, ne mpemmenta mu Babulooni erinnya n'abalifikkawo, n'omwana n'omuzzukulu, bw'ayogera Mukama.