Isaiah 14:24 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda w'Amagye yalayira nti: “Nga bwe nategeka, era bwe kiriba, nga bwe nateesa era bwe kirituukirizibwa,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama Katonda ow’Eggye alayidde n’ayogera nti, “Ddala nga bwe nalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo era nga bwe nateesa, bwe kirinywera bwe kityo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti, “Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye alayidde nti: “Mazima nga bwe ntegese, bwe kinaatuukirira; era nga bwe nsazeewo, bwe kinaakolebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mukama ow'eggye alayidde, ng'ayogera nti Mazima nga bwe nnalowooza, bwe kirituukirira bwe kityo; era nga bwe nnateesa, bwe kirinywera bwe kityo;