Isaiah 14:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga Omukama w'Amagye y'akitegese, ani anaamuziyiza? Omukono gwe gugoloddwa, ani anaaguzza?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye ye yateesa, kale ani ayinza okukijjulula? Omukono gwe gugoloddwa, kale ani ayinza okuguzzaayo?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama Nnannyinimagye ky'ateesezza, tewali ayinza kukijjulula, n'omukono gwe ogugoloddwa, tewali ayinza kuguzzaayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama ow'eggye ye yateesa, era ani alikijjulula? n'omukono gwe gugoloddwa, era ani aliguzzaayo?