Isaiah 14:29 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Leka kusanyuka wenna ggwe Filisitiya, kubanga omuggo gw'oyo abadde akukuba gumenyese, kubanga ku kikolo ky'omusota kujja kusibukako enswera, ate akaana kaayo kalifuuka ebbuukizi ery'obusagwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tosanyuka ggwe Bufirisuuti yonna, kubanga omuggo ogwakukuba gumenyese, ne ku kikolo ky’omusota kulivaako enswera, n’ezzadde lyalyo liriba musota ogw’obusagwa oguwalabuka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, yonna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba, kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Mmwe Abafilistiya, temusanyuka wadde ng'omuggo ogwabakuba mwenna gumenyese. Awabadde omusota ogwa nnawandagala waliddawo ssalambwa! Ne mu ggi lyalyo mulivaamu musota ogubuuka mu bbanga, era oguwandula omuliro. 2:4-7; Zek 9:5-7
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tosanyuka, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna, kubanga omuggo gumenyese ogwakukuba: kubanga mu kikolo ky'omusota muliva essalambwa, n'ezzadde lyalyo liriba musota gwa muliro ogubuuka.