Isaiah 14:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ku olwo Omukama bw'alikuwa akalembereza n'oweerako ku bulumi, obwegugungo n'agalimu amazito ge wali ossiddwako,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo olunaku Mukama Katonda lw’alibawa okuwummula okuva mu kulumwa kwammwe n’okukijjanyizibwa kwe mubaddemu nga mukozesebwa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwummula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera kirituuka, Mukama n'abawa mmwe okuwummula mu kubonaabona ne mu kutegana, ne mu mirimu emikakali gye mwawalirizibwanga okukola.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku Mukama lw'alikuweerako okuwuunula mu nnaku zo ne mu kutegana kwo ne mu kuweereza okuzibu kwe wawalirizibwa okuweereza,