Isaiah 14:30 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era abaggulanda b'abaavu balizuula amalundiro, n'abanaku baliwummula mu ddembe: naye ekikolo ekikyo ndikissa enjala, n'ababo abaliba basigaddewo ndibasanjaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abasingirayo ddala okuba abaavu balifuna ekyokulya, n’abali mu kwetaaga balifuna ku tulo naye ekikolo kyo ndikittisa enjala ate abo abalisigalawo mbattise ekitala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe; era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama ye aliba omusumba aliisa abantu be abanaku ennyo; n'abatalina kantu, balibeera mirembe. Kyokka mmwe Abafilistiya, Mukama alibassa enjala. N'abaliba bawonyeewo nabo balittibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ababereberye ab'abaavu balirya, n'abatalina bintu baligalamira mirembe: era nditta ekikolo kyo n'enjala, n'ababo abalifikkawo balittibwa.