Isaiah 14:31 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wankaaki, kuba ebiwoobe, tema emiranga, ggwe ekibuga, Buli Mufilisitiini atengere olw'okutya, kubanga omukka gufubutuse emambuka, ate mu magye ge temuli akwebera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Leekaana ggwe wankaaki, kaaba ggwe ekibuga, osaanuuke olw’entiisa ggwe Bufirisuuti yonna! Kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, eggye ery’abalwanyi omutali munafu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kuba ebiwoobe, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuke, olw'entiisa ggwe Bufirisuuti, yonna! kubanga mu bukiikakkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Muwowoggane, mukaabe mmwe ababeera mu bibuga! Mujja kusaanawo mmwe, Abafilistiya mwenna! Kubanga ekire eky'enfuufu ekiva ebukiikakkono kijja. Eryo lye ggye ly'abalabe, omutali mutiitiizi!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wowoggana, ggwe wankaaki; kaaba, ggwe ekibuga; osaanuuse, ggwe Bufirisuuti, ggwe wenna; kubanga mu bukiika obwa kkono muvaamu omukka, so tewali eyeewala mu ntuuko ze ezaalagirwa.