Isaiah 14:32 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ababaka b'eggwanga eryo balyanukulwa batya? ‘Omukama abanzeewo Siyoni; mu kyo abanaku be mwe balyewogoma.’ ”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale kiki kye banaddamu ababaka b’eggwanga eryo? “ Mukama yassaawo Sayuuni, ne mu kyo abantu be ababonyaabonyezebwa mwe balifuna obuddukiro.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale ababaka b'eggwanga eryo balyanukulwa batya? Nti ‘Mukama yateekawo Siyooni era mu kyo abantu be abateeyamba mwe baliddukira.’ ”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale balyanukulwa batya ababaka ab'eggwanga? Nti Mukama yateekawo emisingi gya Sayuuni, ne mu ye ababonyaabonyezebwa ku bantu be mwe baliddukira.