Isaiah 14:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
otontomanga ekitontome kino ng'ovumirira kabaka w'e Babiloni nti: “Omuwalanye akomye atya? Obusungu bwe buwedde butya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n’oyogera nti: Omujoozi ng’agudde n’aggwaawo! Ekibuga ekya zaabu ekibadde kitutigomya nga tekikyaliwo!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
awo oligera olugero luno ku kabaka w'e Babbulooni n'oyogera nti, “Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga ekya zaabu nga kiweddewo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulikudaalira kabaka wa Babilooniya, nga mugamba nti: “Omufuzi kalibukambwe akomye? N'obukambwe bwe kati lufumo?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
awo oligera olugero luno ku kabaka w’e Babulooni n'oyogera nti Omujoozi ng'aweddewo! ekibuga kya zaabu nga kiweddewo!