Isaiah 14:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amagombe wansi eyo gagugumuse, gajja okukusisinkana ng'otuuka; gasitudde emizimu okukulamusa, bonna abaali abakulembeze ku nsi. Gabaggya ku nnamulondo zaabwe bakabaka bonna abaali bakabaka b'ensi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng’ojja, gagolokosa emyoyo gy’abafu ku lulwo, bonna abaali abakulembeze b’ensi; gayimusizza bakabaka ku ntebe zaabwe, bonna abaali bakabaka baamawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
“Ab'emagombe wansi, bagugumuse ku lulwo, okukwaniriza ng'ojja. Bagolokosa bonna abaliyo, abaali abafuzi ku nsi. Bonna abaali bakabaka, basituse ku ntebe zaabwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amagombe wansi gagugumuka ku lulwo okukusisinkana ng'ojja: gagolokosa abafu ku lulwo, abakulu bonna ab'ensi; gayimusizza bakabaka bonna ab'amawanga okuva ku ntebe zaabwe.