Isaiah 15:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka obuvumirira Mowabu: Kituufu Ari-Mowabu kizikiridde, kisaanyiziddwawo mu kiro kimu! Kiri-Mowabu kizikiridde, kisaanyiziddwawo mu kiro kimu!
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu kiro kimu kyokka Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa ne kimalibwawo. Kiiri ekya Mowaabu nakyo ne kizikirizibwa mu kiro!
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu kirizikirizibwa kirimalibwawo. Mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu nakyo kirizikirizibwa kirimalibwawo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Buno obubaka bufa ku Mowaabu. Ebibuga bya Mowaabu Ari ne Kiiri birizikirira mu kiro kimu, ne bifuuka matongo. 2:8-11
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu gwa Mowaabu. Kubanga mu kiro kimu Ali ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo; kubanga mu kiro kimu Kiri ekya Mowaabu baakizisa, baakimalawo.