Isaiah 15:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Diboni ayambuka ku kiggwa kye, ku kifo kye ekigulumivu akaabe; Mowabu ayaziiranira ku Nebo ne mu Medeba. Emitwe gyonna, miwalakate, na buli kirevu kimwereddwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu b’e Diboni bambuse ku lusozi okukaabira mu ssabo lyabwe. Abantu ba Mowaabu bakaaba bakungubagira ebibuga byabwe ebya Nebo ne Medeba. Buli mutwe gwonna gumwereddwako enviiri na buli kirevu kyonna kimwereddwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu b'e Diboni bambuse, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga; Mowaabu akungubagira Nebo ne Medeba. Ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu b'e Diboni balinnye akasozi, bakaabire eyo amaziga. Abamowaabu bakungubagira ebibuga Nebo ne Medeba. Era okulaga obunakuwavu, basazeeko enviiri n'ebirevu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ayambuse e Bayisi ne Diboni, ku bifo ebigulumivu, okukaaba amaziga: Mowaabu awowogganira Nebo ne Medeba: ku mitwe gyabwe gyonna kuliko ebiwalaata, buli kirevu kimwereddwa.