Isaiah 15:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mu nguudo beesibye bikutiya; ku busolya waggulu ne mu mpya bonna bakuba ebiwoobe, beeziribanga mu maziga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beesibye ebibukutu mu nguudo; ku nnyumba waggulu era ne mu bibangirize ebinene eby’omu bibuga bakaaba. Buli muntu atema emiranga n’abikaabira amaziga amayitirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beesibye ebibukutu mu nguudo zaabwe, waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu akuba ebiwoobe, ng'akaaba nnyo amaziga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bonna mu nguudo, bikutiya bye bambadde. Waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu bibangirizi by'ebibuga biwoobe bye bakuba, nga bakaaba nnyo amaziga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beesibira ebibukutu mu nguudo zaabwe: waggulu ku nnyumba zaabwe ne mu mbuga zaabwe buli muntu awowoggana, ng'akaaba nnyo amaziga.