Isaiah 15:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kesuboni ne Eleyale batema emiranga, ekiwoobe kyabwe kiwulikika n'e Yawazi. Abatabaazi b'e Mowabu kye bavudde bakuba enduulu, emitima gyabwe gikubagana.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kesuboni ne Ereyale bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, n’amaloboozi gaabwe gawulikika e Yakazi. Abasajja ba Mowaabu abalina ebyokulwanyisa kyebava bakaaba mu ddoboozi ery’omwanguka, emmeeme ekankanira munda mu Mowaabu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kesuboni ne Ereyale bakaaba, eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi; basserikale ba Mowaabu kyebaava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'e Hesubooni ne Eleyaale batema miranga myereere, era eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuukira ddala e Yahazi. N'abaserikale ba Mowaabu bakaaba nga baleekaana, olw'encukwe muli ebakubye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ne Kesuboni alira, ne Ereyale; eddoboozi lyabwe liwulirwa okutuuka e Yakazi: basserikale ba Mowaabu kyebava boogerera waggulu; obulamu bwe bukankana mu nda mu ye.