Isaiah 15:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omutima gwange gukaabira Mowabu; abakidduseemu batuuse n'e Zowari, ne Egulati-Selisiya. Bambuka nga bakutte ery'e Lukiti nga bwe bakaaba; ku kkubo eriraga e Koronayimu kwe batemera emiranga olw'okuzikirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abantu be babundabunda, baddukira e Zowaali ne Yegulasuserisiya. Bambuka e Lakisi nga bwe bakaaba; bakaabira mu kkubo ery’e Kolonayimu nga boogera ku kuzikirizibwa kwabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya, kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnumirwa Abamowaabu abo! Abakungu baabwe baddukira e Zowari, n'e Egulaati Selisiya. Abamu bambukidde mu kkubo ly'e Luhiiti nga bambuka bakaaba amaziga. Abalala bakutte ly'e Horonayimu, nga bakaaba olw'obutaba na ssuubi lya kuwona.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutima gwange gukaabira Mowaabu; abakungu be baddukira e Zowaali, e Yegulasuserisiya: kubanga awayambukirwa e Lukisi gye balinnyira nga bakaaba amaziga; kubanga bakaabira mu kkubo ery'e Kolonayimu okukaaba okw'okuzikirira.