Isaiah 15:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obugagga bwe bakuŋŋaanya ne batereka, kyebava babusomosa Ekiwonvu ky'Enzibaziba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu basomoka akagga ak’enzingu nga badduka n’ebintu byabwe bye baafuna ne babitereka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebintu ebingi bye bafunye, n'ebyo bye baali baterese, kyebaliva babiddusa nga babiyisa mu Kiwonvu ky'emiti egy'enzingu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebintu ebingi bye bafunye n'ebyo bye baterese kyebaliva babitwala eri omugga ogw'enzingu.