Isaiah 15:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amazzi ga Diboni gajjudde omusaayi; naye era Diboni nzija kumuleetera bingi okusingawo: empologoma eri abo abaliba badduse mu Mowabu, n'abo abaliba basigadde mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amazzi g’e Diboni gajjudde omusaayi, naye ndyongera okuleeta ebirala ku Diboni; empologoma egwe ku abo abalisigalawo mu Mowaabu, ne ku abo abalisigalawo ku nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga amazzi ag'e Diboni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Diboni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amazzi g'e Dimoni gajjudde omusaayi, era Mukama alireeta n'akabi akalala ku bantu baayo. Empologoma zirirya abaliwonawo ku Bamowaabu, abasigaddewo mu nsi eyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga amazzi ag'e Dimoni gajjudde omusaayi: kubanga ndyeyongera okuleeta ebirala nate ku Dimoni, empologoma ku oyo awona ku Mowaabu, ne ku abo abalifikkawo ku nsi.