Isaiah 16:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Musindike akaliga eri abafuga ensi okuva e Sela mu ddungu okutuusa ku lusozi lwa muwala wa Siyoni.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Muweereze abaana b’endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera, ng’oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa Muwala wa Sayuuni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muweereze abaana b'endiga eri oyo afuga ensi, okuva e Seera ng'oyita mu ddungu, okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okuva mu Kibuga Seela ekiri mu ddungu, muweereze ekirabo eky'endiga ento eri Oyo afuga mu Yerusaalemu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Muweereze abaana b'endiga b'oyo afuga ensi okuva e Seera ekyolekera eddungu okutuuka ku lusozi lwa muwala wa Sayuuni.