Isaiah 16:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kale nno Omukama agamba nti: “Mu myaka asatu, ng'omupakasi bw'agibalirira, ekitiibwa ky'e Mowabu kijja kunyoomebwa wamu ne nnamungi yenna ow'abantu be; abalisigalawo baliba batono ate nga bayenjebufu.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano Mukama Katonda agamba nti, “Mu myaka esatu, ng’omukozi gwe bapangisizza bwe yandigibaze, ekitiibwa kya Mowaabu kijja kuba nga kifuuse ekivume ekinyoomebwa, newaakubadde ng’alina ekibiina ekinene; era walisigalawo abantu batono ate nga banafu ddala.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kaakano Mukama ayogedde nti, “ Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo ate nga banafu ddala.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kaakano Mukama agamba nti: “Emyaka esatu, ng'egiragaanibwa oyo akolera empeera, oluliggwaako, ekitiibwa kya Mowaabu kiriba tekikyaliwo. Ku bantu ba Mowaabu abangi, waliba wasigaddewo batono nnyo, era nga tebakyalina maanyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kaakano Mukama ayogedde nti Emyaka esatu nga teginnaggwaako, ng'emyaka egy'omusenze akolera empeera bwe gibeera, ekitiibwa kya Mowaabu kirinyoomebwa awamu n'ekibiina kye kyonna ekinene; n'abo abalifikkawo baliba batono nnyo so tebaliba kintu.