Isaiah 16:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ng'ebinyonyi ebipaapaala nga bigobeddwa mu kisu, ne bawala ba Mowabu bwe bali ku misomoko gya Arunoni:
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ng’ennyonyi ezabulwako ekisu n’ezisaasaana nga zidda eno n’eri, bwe batyo bwe baliba abawala ba Mowaabu awasomokerwa Alunooni.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabulwako ekisu n'ezisaasaana, bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamowaabu balindira ku mbalama z'Omugga Arunoni, nga babungeetera okwo ng'ennyonyi ezigobeddwa mu kisu ne zisaasaana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga olulituuka ng'ennyonyi ezaabula ng'ekisu ekyasaasaana bwe batyo bwe baliba bawala ba Mowaabu ku misomoko gya Alunoni.