Isaiah 16:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abadduse mu Mowabu babudame mu ggwe; babeerere obwewogomo ku bazikiriza.” Abonyaabonya ng'awedde, n'okuzikiriza nga kukomye, n'oyo abadde alinnyirira abuzeewo mu nsi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Muleke aba Mowaabu abajja bagobebwa babeere nammwe. Mubataakirize oyo ayagala okubamalawo.” Omujoozi bw’aweddewo, n’okubetentebwa ne kuggwaawo; omulumbaganyi aliggwaawo mu nsi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Muleke Abamowaabu abajja bagobebwa batuule nammwe; Mubeere ekiddukiro kyabwe mu maaso g'omunyazi, kubanga atulugunya azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bawedde mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mutuleke tubeere mu nsi yammwe mutuwonye oyo atuzikiriza, kubanga okunyigiriza n'okuzikiriza bwe birikoma, abo abanyagulula ensi baligenda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abange abagobeddwa batuule naawe; Mowaabu, beera kiddukiro gy'ali mu maaso g'omunyazi: kubanga omukanga azikiridde, okunyaga kuwedde, abajoozi bakomye mu nsi.