Isaiah 16:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nnamulondo erissibwawo mu kwagala, era aligituulako mu bwesigwa oyo eyava mu weema ya Dawudi, agoberera obwenkanya ng'alamula, era ayanguwa okukola ebikolwa eby'obutuukirivu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entebe ey’obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era ku yo kutuuleko omufuzi ow’omu nnyumba ya Dawudi alamula mu bwesigwa era anoonya obwenkanya era ayanguwa okukola eby’obutuukirivu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entebe ey'obwakabaka eryoke etekebwewo mu kwagala, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olwo omu ku b'ezzadde lya Dawudi, alituula ku ntebe ey'obwakabaka. Alifuga abantu nga musaasizi, era ng'alamuza mazima. Aliba mwangu mu kukola ebituufu, era alifugisa bwenkanya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'entebe ey'obwakabaka eneenywezebwanga mu kusaasira, era walibaawo aligituulako mu mazima, mu weema ya Dawudi; ng'asala emisango, era ng'agoberera eby'ensonga, era omwangu okukolanga eby'obutuukirivu.