Isaiah 16:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twawulira ku kwekuza kwa Mowabu, ku kwekuza kwe okungi n'olwetumbu lwe, okwekuza kwe n'amampaati ge, naye okwewaana kwe temuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga bw’ajjudde okwemanya, n’amalala ge n’okuvuma; naye okwemanya kwe tekugasa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; okwemanya kwe, amalala ge n'okuvuma kwabwe, okwenyumiriza kwe tekuliimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ab'omu Buyudaaya bagamba nti: “Tuwulidde Abamowaabu nga bwe bali abeekuza. Tumanyi nga beekulumbaza nnyo, era beepanka, kyokka beewaanira bwereere.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tuwulidde amalala ga Mowaabu, nga wa malala mangi nnyo; ekyejo kye n'amalala ge n'obusungu bwe; okwenyumiriza kwe tekuliimu.