Isaiah 16:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
N'olw'ekyo Mowabu akuba ebiwoobe; bonna bakubira Mowabu ebiwoobe. Bakaabira obugaati bw'emizabbibu emiwotose obw'omu Kiri-Kareseti.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire ku Mowaabu. Mukungubage, musaalirwe obugaati bw’emizabbibu egy’e Kirukalesesi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'olwekyo leka Mowaabu akaabe, leka buli muntu akaabire Mowaabu. balinakuwala n'ebayongobera, olw'emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abamowaabu balikaaba, bonna balikaaba olw'okubonaabona. Balinakuwala bwe balijjukira emmere ennungi gye baalyanga mu Kibuga Kiiri Hareseeti. Balituuka okuterebuka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mowaabu kyaliva awowogganira Mowaabu, buli muntu aliwowoggana: mulinakuwalira emigaati egya zabbibu egy'e Kirukaleseesi, nga mukubiddwa ddala.

Recommended Reading