Isaiah 16:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennimiro z'e Kesuboni ziwotose era n'emizabbibu gy'e Sibuma; abafuzi b'amawanga basambiridde emizabbibu gye emimyufu, egyatuukanga n'e Yazeri, ne girandira ne mu ddungu; obulokolerwa bwagyo bwabuna wonna, ne butuuka ne ku nnyanja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ennimiro ez’e Kesuboni zikaze, n’emizabbibu gy’e Sibuma giweddewo. Abafuzi b’amawanga batemeddewo ddala emiti gyabwe egyasinganga obulungi, egyabunanga ne gituuka e Yazeri nga giggukira mu ddungu n’emitunsi nga gibuna nga gituukira ddala mu nnyanja.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ennimiro ez'e Kesuboni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gatukira ddala ku nnyanja.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Eby'omu nnimiro z'e Hesubooni biwotose, era n'emizabbibu gy'e Sibuma. Egyo mwe mwasogolwanga omwenge ogwatamiizanga abafuzi b'amawanga. Amatabi gaagyo gaalanda okutuukira ddala e Yazeri ne gatuuka mu ddungu, ne galanda ne ku ludda olulala, ne gasomoka Ennyanja Enfu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ennimiro ez'e Kesubooni ziwotoka, n'omuzabbibu ogw'e Sibuma; abakungu ab'amawanga bamenyedde ddala emiti gyagwo egyasinga obulungi; gyabuna okutuuka e Yazeri, gyatuuka mu ddungu; amatabi gaagwo gaalanda, gaasomoka ennyanja.