Isaiah 17:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obubaka ku Damasiko: “Damasiko kijja kukoma okuba ekibuga; kijja kufuuka ntuumu ya bifulukwa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Laba Ddamasiko tekikyali kibuga, kifuuse matongo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba ntuumu eky'ebyagwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bino bye byalangibwa ku Damasiko: “Laba Damasiko kiggyiddwawo, tekikyali kibuga era kinaabanga ntuumu ey'ebimenyeddwamenyeddwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omugugu gwa Ddamasiko. Laba, Ddamasiko, kiggiddwawo obutaba kibuga, era kiriba kifunvu eky'ebyagwa.