Isaiah 17:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne bw'oligimeza ku lunaku lw'ogisimbye, ate enkeera y'olwo lw'ogisimbye n'ogireetera okumulisa, era ku makungula temuliba kantu, ku lunaku olw'obuyinike n'obulumi obutaliiko kuwonya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw’obisimbye, era ne bimerusa ensigo ku makya kwennyini kwe bisimbiddwa, tolibaako ky’okungula wabula obulumi obutawonyezeka n’ennaku ey’ekitalo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
wadde obisimba bulungi nnyo ne bimera ku lunaku lw'obisimbye, enkya omerusa ensigo zo; naye ebikungulwa birikuddukako, ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ne bwe ginaakulirawo ne gimulisizaawo ku makya g'olunaku lw'ogisimbiddeko, era tewaliba bikungulwa, wabula okunakuwala era n'okukungubaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ku lunaku lw'osimbirako ossaako olukomera, era enkya omerusa ensigo zo: naye ebikungulwa biddukira ku lunaku olw'okunakuwaliramu era olw'okukungubagiramu.