Isaiah 17:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wadde abantu bayira ng'amazzi amangi bwe gayira, naye alibaboggolera ne baddukira wala, ne bakuŋŋunsibwa ng'essubi ku lusozi bwe likuŋŋunsibwa empewo, ng'enfuufu y'akazimu bw'esitulibwa kibuyaga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Wadde amawanga galiwuuma n’okuwulikika ne gawulikika ng’amazzi agayiika n’amaanyi amangi, Mukama bw’aligagoba, galibulawo mbagirawo. Galiba ng’ebisusunku bwe bitwalibwa empewo; era ng’enfuufu ekunta nga yeetooloola, enkuba ng’eneetera okutonnya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amawanga gawuluguma ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya, nabo baliddukira wala, era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo, era ng'enfuufu ey'etooloola mu kibuyaga akunta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga gawuluguma ng'amayengo g'amazzi amangi. Kyokka Katonda aligakomako, ne gaddukira wala. Galiba ng'ebisusunku ku lusozi ebikuŋŋunsibwa kibuyaga, era galiba ng'enfuufu mu mbuyaga ey'akazimu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amawanga galiwulukuka ng'okuwulukuka kw'amazzi amangi naye alibanenya, nabo baliddukira wala, era baligobebwa ng'ebisusunku eby'oku nsozi mu maaso g'empewo, era ng'enfuufu ey'akazimu mu mberi ya kibuyaga.