Isaiah 17:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Akawungeezi, laba, ntiisa njereere. Buba tebunnasaasaana nga tebakyaliwo. Ogwo gwe mugabo gw'abo abatunyaga, y'empeera y'abo abatwaya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Entiisa ey’amaanyi eribagwako akawungeezi. Buliba tebunnakya ng’abalabe bonna tewakyali. Guno gwe mugabo gw’abo abatunyaga, era y’empeera y’abo abatunyagako ebyaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Akawungeezi, laba, ntiisa; era obudde nga tebunnakya nga tebaliiwo. Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga, era ye mpeera y'abo abatutwalako ebyaffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balireeta entiisa akawungeezi, naye we bulikeerera, baliba tebakyaliwo. Ogwo gwe guliba omugabo gw'abo abatunyaga, era ye eriba empeera y'abo abatubbako ebyaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Akawungeezi, laba, ntiisa; obudde nga tebunnakya tebaliiwo. Guno gwe mugabo gw'abo abatunyaga, era ye mpeera y'abo abatukwakwabira.