Isaiah 17:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebibuga byakyo birekeddwa ttayo emirembe gyonna; birifuuka bya magana, galigalamira omwo nga tewali agaguŋŋumula.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ebibuga bya Aloweri babidduseemu: birirekerwa ensolo mwe zinaagalamiranga nga tewali azikanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo, biriba malundiro ga bisibo, mwe binaagalamiranga nga tewali abikanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ebibuga bya Aroweri birekeddwawo ttayo. Binaabeeranga malundiro ga ndiga na mbuzi, mwe zinaagalamiranga awatali azikanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ebibuga bya Aloweri birekeddwawo: biriba bya mbuzi, ezinaagalamiranga so tewaabenga anaazikanga.