Isaiah 17:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebigo ebigumu biribulawo mu Efurayimu, n'obwakabaka buliva mu Damasiko; ebiriba bisigaddewo mu Aramu biriba ng'ekitiibwa ky'Abayisirayeli,” Omukama w'Amagye bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigo eky’amaanyi kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n’obwakabaka mu Ddamasiko bulimalibwawo; naye abalisigalawo mu Busuuli, baliba n’ekitiibwa ng’eky’abaana ba Isirayiri,” bw’ayogera Mukama Katonda ow’Eggye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigo kirisaanyizibwawo mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko bulivaawo, n'abalifikkawo mu Busuli; baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abeefurayimu banaabanga tebakyaliko bigo bibataasa, nga ne Damasiko tekikyalina bwakabaka. Abasiriya abaliwonawo nabo baliba mu kuswala ng'ab'omu Yisirayeli. Mukama Nnannyinimagye, bw'atyo bw'agambye.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era ekigo kirikoma mu Efulayimu, n'obwakabaka mu Ddamasiko, n'abalifikkawo ku Busuuli baliba ng'ekitiibwa ky'abaana ba Isiraeri, bw'ayogera Mukama ow'eggye.