Isaiah 17:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
“Era ku olwo ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; n'omugejjo gw'omubiri gwe guliddirira.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
“Awo olulituuka ku lunaku luli, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera; era akoggere ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa, era alikoga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekiseera ekyo bwe kirituuka, ekitiibwa kya Yakobo kirikendeera, ne mu kifo ky'okugejja, n'akogga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo olulituuka ku lunaku luli ekitiibwa kya Yakobo kirikendeezebwa, n'obugevvu bw'omubiri gwe bulikogga.