Isaiah 17:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋano eri ku kikolo, n'akungula eŋŋano mu mikono gye; era nga bw'agenda alonderera ebirimba by'eŋŋano mu kiwonvu kya Refayimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne kiba ng’omukunguzi bw’akuŋŋaanya eŋŋaano, n’omukono gwe ne gukungula empeke; weewaawo kiriba ng’omuntu bw’alonda ebinywa by’eŋŋaano mu Kiwonvu kya Lefayimu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera n'omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng'omuntu bw'alonda ebirimba mu kiwonvu kya Lefayimu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Yisirayeli eriba ng'ennimiro esaliddwamu eŋŋaano ekunguddwa. Eriba nkalu ng'omusiri gw'omu Kiwonvu Refayiimu, gwe bamaze okulondamu ebirimba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era kiriba ng'omukunguzi bw'akuŋŋaanya eŋŋaano emera n'omukono gwe ne gukungula ebirimba; weewaawo, kiriba ng'omuntu bw'alonda ebirimba mu kiwonvu kya Lefayimu.