Isaiah 17:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ebirimba eby'okulondalonda birisigalamu, ng'omuti gw'oliva bwe gukubwa, ensigo bbiri oba ssatu ne zisigalira ku busanso bw'ettabi erisembayo; oba ng'ensigo nnya oba ttaano bwe zisigalira ku matabi g'omuti agaabala,” Omukama Katonda wa Yisirayeli bw'agamba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye mulisigalamu ebinywa ebirondererwa ng’omuzeyituuni bwe gubeera nga gukubiddwa, ne guleka ebibala bibiri oba bisatu waggulu ku busongezo, bina oba bitaano ku busongezo bw’omuti omugimu,” bw’ayogera Mukama, Katonda wa Isirayiri.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu (3) waggulu ku busongezo obukomererayo, bina oba bitaano (5) ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye mu Yisirayeli mulisigalamu abantu abatonotono ng'omuzayiti ogunogeddwako ebibala bwe gusigazaako ebibiri oba ebisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, n'ebibala ebina oba ebitaano mu matabi gaagwo amaziyivu. Mukama, Katonda wa Yisirayeli, bw'atyo bw'agambye.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye mulisigalamu ebirondebwa, ng'okukubibwa kw'omuzeyituuni bwe kubeera, ebibala ebibiri oba bisatu waggulu ku busongezo obukomererayo, ebina oba bitaano ku busongezo bw'omuti omugimu, bw'ayogera Mukama, Katonda wa Isiraeri.